Twongela okukirengela nti muntandikwa eyekintu kino, abasajja abaasindikibwa eno ewaffe baali basajja abaalina entobo eyekyuuma. Captain Hanning Speke tumulengedde yali kandanda – nga asaza. Naye waliwo eyali amukira. Leero katwogere ku Captain’we, Omw. Richard Francis Burton. Ono ye ate, yali super kandanda.
Mu basajja babussuka nsalo b’osanga mu byafaayo byenkyuukakyuuka wano ewaffe, awamu nekumililwaano, Omw. ono ndowooza yeyali omuyivvu ennyo okusingako.
Ebyafaayo mu Bungereza bimuteeka mu tuluba lyakika kyawagulu nnyo kubanga yali musajja owenjawulo ennyo. Ebyafaayo ebimukwatako binyuma okufa ela nga byewunyisa okukamala.
Ng’ela abalala bonna, Burton naye yali mu namajje. Yali Captain mu majje ga Bungereza ag’alumba n’okuvunamya India. Ela yali musaale nnyo mu Crimean War.
Ela mubuwereeza’bwe, yafuuka Consul wa Bungereza, oba omuntu akiikilira ensi’ye munsi endala. Yaweleeza mu nsi nga: Equotorial Guinea, mu Brazil, mu Ottoman Syria, ela ne mu Trieste, mu Italy; okwo kwogatta ebitiibwa ebilala.
Ffe wano ewaffe tumujjukila nga omwaami omussuka nsalo eyasooka okujja mu kitundu kyaawano kyebayita East Coast of Afrika.
Burton y’omu oyo eyali mu West Africa nga yetegeleza obwakabaka bwe Dahomey. Bwaava eyo n’asembela wano e Congo neyetegeleza obugagga bwensi eyo. Ate olwagila n’agenda mu Austria-Hungary; oluvannyuma nebamusindika mu ntalo ezaali mu Paraguay okubega ebyaaliyo ng’eno olutalo bwelugenda mumaaso.
Kwegamba omusajja ono omunyeenyezabunyeenyeza mutwe.
Capt. Burton nga amanyi bulungi okugya mu buli mbeela.
Burton azaalwa mu Torquay, mu Bungereza, nga 19 March 1821. Taata’we, Omw. Joseph Netterville Burton, naye yali munamajje, Lt.-Colonel. Mama we, Omuky.Martha Baker, yali muwala w’omugagga omugundiivu mu byaalo byeyo ewaabwe.
Captain Richard Burton
Family ya Burton yali family entambuze ennyo kubanga akasente kko k’aliwo. Naye newankubadde bwegutyo bwegwaali, ela’nga ebitundu mwebaagenda’nga nga bisinga kuba byansi satu; France, Italy ne England. Wazila buli webalaga’nga, ba Burton nga basomesebwa bakugu bokka. Eno zezimu kweezo ensonga lwaki okumanya’kwe kwali kwawagulu.
Obwongo Obusukulumu
Bagamba nti nga ogyeko okuba n’obwongo obulowooleza waggulu n’okujjukila mungeli eyewunyisa, Burton yali musajja eyalina eliiso egyogyi ennyo elyetegereza ensonga, ela nga mukugu mu kusoma embeela ez’abantu ab’ebika ebyenjawulo. Ye musajja eyalina amatu agawulira okufa obufi. Nti n’amaloboozi ag’amubanga ewala, nga toweyibaala. Yali asobola okugawulira.
Abasinga basinga kumwewunyaako obusobozi bweyalina obwokumanya okwogera ennimi enzibu okuyiga, naddala ku ssemazinga wa Asia, Americas ne Africa. Burton yali asobola okwogera ennimi ezenjawulo ezitakka wansi wa 29 — nga muno mwemuli; Roman, Latin. French. Arabic, Greek nennimi endala – ate nga azogela munjatula ezenjawulo mwezijjila.
Enimi endala enzibu zeyakubanga obudinda, mwemuli; Hindustani, Gujarati, Punjabi, Sindhi, Saraiki, Marathi, ne Persian. Bakugamba nti bweyali ayiga ennimi zino, nga afuba okulaba nga yebbikila ddala mubuwangwa, enzikiriza nennono zeezo enimi. Ela olwensonga eno, banne baali bamumanyi nga omuntu munaddini ennyo. Burton nga ye Mukatoliki asinga, omu Sikhi asinga, Omusilaamu asinga, nenzikiliza endala. Nga takoma bukomi kuzimanya, nga bwatuuka okuteeka munkola obulombolombo bwobuwangwa bweeezo ennimi, nga toyoya mulala.
Enkolaye eno nga yeewunyisa abalala ela nga emwawula kubantu b’abulijjjo, ng’ela nawe bwewandisuubidde. Okumanya yali yewuunyisa, yalina enkima zeyali yakunganya nga ekigendelelwa kyabyona nga kyakuyiga nimi zaazo. Mbu ela yalina weyali atuuse mukwogela olulimi ‘Olukima’.
Burton Yali Muvumu nga Empologoma
N’ekilala, Mw. Burton yali musajja muvumu nnyo ate nga mumegannyi namigge. Obuvumu bweyalina n’obusobozi okumeggana n’abantu nga tomugelagelanya kumuntu mulala. Ela nti mubulamu’bwe teyasangako muntu n’omu bwati eyali amezze abantu abawelako, mu lulwaana olumu luti, nga ali yeka, eyali amwenkana mungeli yona. Mu banne ekyo buli omu yali akimanyi ela nga tomwengaanga n’okeesa.
N’olwekyo, Mw. Burton yali atiibwa okufa. Abamu nga b’amukyaawa, abalala nga tebasobola kumwesiga. Bino byona baali babikola nga tebasisinzide kubintu byeyali azze akola, oba ebimwoogelwako, naye okusingila dala, kulwebyo abantu byebaali bamulowoleza n’okukiliza nti yali asobola okubikola. N’abaali bamukulembela nga nabo bamutya. Leka oti! Mubimpimpi nga si ye musajja omwangu.
Burton Yali Atiibwa
Burton yali mu namajje omutendeke obulungi
Nga ogyekyo okuba omulwaanyi n’omwogezi owennimi eziwelako, Burton yali mukulembeze owenjawulo ennyo eyali at’eelya ntama. Abamu bamujjukila kuvumilila Bungereza nga anenya gavumenti ye olwebilubililwa ebyo’okuwamba n’okufuga ensi endala nga amatwaale gaabwe.
Naye n’ekilala, yoono omwami eyeyayita Hannington Speke aweleeze wansi’we mu nsonga za ssemazinga wa Afrika, naddala nga otunuulidde ensonga ez’okuyigga ensulo ya River Nile.
Abasajja ab’enjawulo mu byafaayo bya Bungereza; nga ba Hanning Speke, ba James Grant, n’abalala, b’asindikibwa okutalaaga ensi mu bitundu ebyenjawulo olwensonga ezitali zimu, naye ate ettuluba lyono omwami lyeyalimu, ddyo ate lyaali lyaawufu. Eno zezimu kweezo ensonga lwaki ennimi zeyali ayogela nga ssi z’akitundu kimu.
Ssekanyolya — Omukessi Ssaabakessi
Burton ye mwaami eyawenjula entimbe z’Abawarabu ezaali zitatukwaako n’alingiza gyeyali atakilizibwa.
Ebiseela ebyo’1800, abantu abaali abazibu okuketta bebaali Abawarabu. Ebitundu ebisinga mu bu Warabu nga bitukibwaamu bantu b’amunda bokka ate abannyikila ennyo mubuwangwa bwaabwe. Naye olw’obusobozi bw’omusajja ono Burton, yasobola okuwaguza ela bwaatyo n’akettela Bungereza ebyo byebaali betaaga.
Burton nga ali mu Buwarabu nga ababega.
Ebitabo bimujjukila okwessoga mu Bawarabu, nga ayitidde mu Saudi Arabia, nga yetuumye “Hajji Abdullah”. Naye ate bweyali yessoga Persia, yali yeyita Mirza Abdullah – Bushri (1849-50).
Ela bweyesogga e Buwarabu, yasobola okuvvunula ebitabo bya Bawarabu ebiwelako ebyaali bitakilizibwa kumanyibwa bantu b’ebweeru – naddala Abazungu. Ela okwo n’agatako okuwandiika ebitabo ebiwelako nga bili mu masomo ag’ebika ebyenjawulo.
Burton Agenda e Mecca
Captain Burton yennyikila ddala mu buwangwa bwekiwarabu
Burton yatalaaga ebyaalo bya Medina ne Mecca nga yeyongela okwetegeleza enkola z’Abawarabu. Ela bwaatyo, n’agenda mu Alexandria, n’ayingira Cairo, nebyaalo byeeyo.
Mukusokela ddala yasooka kwefuula nakweyita ‘Mirza’ ekitiibwa kyebawa abantu abakiliziddwa ngela bakakasiddwa okuba nga basibuka mulunyiriri lwa nabbi Muhammad, kuludda lwabazaddde abakyaala. Ela yali yeyita Seeka mulamba asibuka okuva muba Tabi, etabi eddene ely’obusilamu elyaba Sunni. Nga obukugu bwatambulilamu bwakubeela omusawo omutendeke, ng’ela alina obusobozi okufuusa. Ela ebiseela’bye ebisinga nga yeekuusa kwaabo abatono ennyo abatetanila kukungaanya byabugagga byansi eno — abayitibwa ba dervish.
Mu ngendo ezo zonna, Burton yali atambula n’omulenzi — muyite omuddu’we, nga nzaalwa z’eyo e India – nga bamuyita Nur.
Kale nga bwomusanga, nga okakasizaawo nti yali musajja munaddini nnyo ey’obusilamu. Ela nga Kuraani, ekitabo kya Bawarabu, nga akiwa ekitiibwa okusinga abantu abalala.
Captain Burton yatambulanga n’abasubuuzi nga abega Abawarabu
Ela okwawukana ku balala, yali yakifunila akasanduuko mweyali akiteleka — kumbe — nga mukasanduuko’omwo mulimu obusenge obulala, mweyali ateleka ekalaamu n’obutabo’bwe mweyali akulukuunya byeyali akesse.
Mukasanduuko omwo, mwalimu obusenge busatu bulambilila mweyali ateleka esaawa’ye, compass emulaga wa waali, ssente’ze, akambe, ekalaamu, n’empapula oba obutabo.
Burton Yalamaga e Mecca
Captain Burton nga aketta
Omwami ono yasinga’nga kutambula n’abasuubuzi, mpozi n’abalunzi b’ebisolo — mpolampola bwatyo. Ela bwaatyo bweyagenda mu Suez, wuuyo mu Yanbu, ekibuga ekili mu Saudi Arabia, n’awunzika nga yegasse kwaabo abaali bagenda e Medina. Ela bwaatyo n’akilira e Mecca. Yalengelwa nga yeetaba mu Tawaf (obumu kubulombolombo obw’okulamaga). Ela n’ayambuka ku lusozi Arafat (luno lusozi lwabyafaayo mu ba Warabu nenzikilira ye Kiwarabu).
Bwaava awo neyetaba mu kalombolombo ak’okukuba Sitaani amayinja mukujjukila ebyo Abraham byeyakola. Bino yabikolanga naye nga bwafuna akaagaanya, nga abaako byawandiika. Bwayava awo naddayo e Cairo, n’asalinkiliza mpolampola, n’awunzikila mu India.
Richard Burton yabeela mu buli mbeela nga ali mu bukessi
Yali yakizuula nti mukwongela okwetegeka, okwewagala, n’okumanyiila enkola ye Kiwarabu, yalina kwegezesa nga ali mubuwangwa obwe India. Kyova olaba nga yasiiba’nga mu bitundu ebya Sindh — mubasilaamu be India – Pakistan.
Akugamba nti olugendo lwokubega Abawarabu kwaali kumila mwooyo kwenyini kubanga agamba nti ne Katonda aba tasobola kukutaasa kasita bakugwaamu — naddala nga bakizudde nti ediini yabwe togigobelela.
Okumanya Burton y’etegeka bulungi, w’abangawo ebibuuzo ebikakali ebyatulibwanga abantu abakugu mu lulimi, obuwangwa n’obulombolombo bwe Buwarabu. Burton ebyo ebibuuzo yabikola n’abiyita bulungi nnyo ate wakati mubuzibu bweyalimu. Obuzibu bweyalimu bwaali nti eyali kalabalaba webibuuzo ebyo, yali tayagalilra ddala Burton olwensonga zeyalina naye ng’ate obusobozi bwa Burton bweyoleka bwoka. Bwaali busukulumu nga buyisa obukyaaayi bweyalimu.
Kate Bamukwaate Akifuuwe Nga Akizza Munda
Captain Burton nga yefudde omu Persian
Mumilimu’gye egyookuketta, lumu Mw. Burton yakola ensobi. Yagenda n’asitula engoye okufuuyisa, mukifo kyokusitama, oba enkola endala yonna — nga abakilizza abali mu tuluba lyeyali alaga bwebalagilwa okukola mu buwangwa bwenzikiliza eyo. Ensobi eyo bweyali agikola, newabaawo amulengela. Hoo! Ela awo, okwewonya okulopebwa n’okumwogelako, musajja watu ‘Mulengela’ n’afilwa obulamu’bwe. Naye bakugamba nti ebiseela ebisinga ekyo yakyegaana’nga nebweyali mu kelezia nga Faaza amubuuza. Ye yagamba’nga nti yali tatangako muntu yenna mumbela yona. Naye captain omulamba owebiseela ebyo?
Burton mu Africa
Kati bwaava mwebyo byona; n’obukugu n’obusozi obwo, kwekusalawo agye eno ewaffe ayambeko okuyigga ensulo y’omugga River Nile. Ela oluvanyuma Captain Burton n’ayita Lieutenant Hanning Speke, Lieutenant G.E. Herne ne Lieutenant William Stroyan, n’abalala, bamuyambeko.
Ekyaweesa Mw. Burton obuvunanyizibwa obwokuyigga ensulo y’omugga River Nile bwaali bukugu n’obumanyilivu bweyali ayolesezza. Ab’ekitongole ekya Royal Geographical Society okwo kwebasinzilira okumutuma aggye eno mu ‘katiro’, ku Ssemazinga wa Africa, ekitundu ekyaali kijjudde endwadde zili enkwaafu. Aba Royal Geographical society b’amutekamu ssente nkumu nga ekigendelelwa ekikulu kyakuzuuula eby’obugaggag ebili munda nebyo ebyetoolodde ennyanja ezili wano ewaffe nekumililwaano.
Ekifananyi okulaga ba Burton nga babagoba e Somalia
Luli twayogela kungeli aba Somalia webalumba ba Burton ne ba Speke bwebaali basalinkiliza okubayitamu. Ela Burton yafa abalojja nga agamba nti aba Somalia bantu b’abusagwa, nga agamba nti bazibu nnyo.
Naye mu Bungereza b’amunenya nga bagamba nti teyalina nsonga nkulu kwetubika mu kabenje bwekatyo akaavilako banne okufa. Olwo olugendo lwaali bulabe bwenyini ela b’alemelelwa. Bwekiba nga kyaali kikwekweeto, ekyo kkyo kyaayika.
Burton ne Speke ku Nnyanja Tanganyika
Captain Burton nga ayingidde mu Africa. Yali tayagala kintu kiyitibwa buddu
Naye, oluvannyuma Burton ne Speke b’amala nebatuuka wano ewaffe, ku nnyanja Tanganyika. Obuzibu obunene bwebaafuna bwaali bwandwadde. Endwadde ezaabuli langi zabagajambulanga olutata.
Ela kigambibwa nti Hanning Speke atuuka ku nnyanja Tangannyika nga n’okulaba talaba bulungi. Aba akyalojja obuzibe obwaali bumulumbye, ate laba ekiwuka bwekijja nekimuyingila mumatu nekigaana okufuluma. Oba kii kyeyali alowooza kubanga bakugamba nti ekiwuka bwekyagaanila mu matu’ge, naddila akambe n’akifumita nekifilayo. Naye ela nakyo tekyaamulekela – okwo okutu nekufiila ddala nga takuwulililamu. Naye ekyo tekyamulobela kwongela kutuuka ku kiluubililwa ekyaali kimuleese.
Mu February 1858, baali batutte ebbanga lyamyezi mukaaga nga banonyereza ensulo y’omugga. Ela mukaseela ako, baali bawunzise n’okukaanya nga bakaanyizza nti ensulo ey’omugga Nile yali ku nyanja Tanganyika. Nti ela daaki baali bamaze nebajitukako.
Naye ate obulwadde obwaali buluma Burton nga tebumusobozesa kutambula nga tasoose kuteleelamu’ko. Nebateesa nti ye Speke yeyongeleyo agende e Bungereza. Burton nga wakumugobelera oluvanyuma. Naye Speke aba yeyongelayo, n’asanga omuvubuka gwebayita Sidi Mubarak Bombay. Ono nno teyali muwarabu ela teyali muyindi. Yali mwana nzaalwa zaffe wano.
Obukugu bwa Sidi – Kula Zikulabe
Omanyi, omuvubuka ono Sidi yagenda n’alaba nga waliwo ekintu Hanning Speke kyeyali atategedde bulungi. Speke yabuuza bannansi oba amazzi mu nnyanja Tanganyika gaali gafuluma oba gaali gayingila buyingizi. Ba nnansi nebamugamba nti gaali gayingila. Kati olw’obuzibu bwolulimi, Speke n’alowooza nti bamugambye nti amazzi gaali gafuluma. Naye omuvubuka oyo ayitibwa Sidi n’akitegeela nti Speke ekintu yali akikutte bubi.
Wano Tulengela Sidi Bombay nga akuze
Sidi kwekusalawo amunnyonnyole nti amazzi gayingila buyingizi. Kati Speke n’alaba nga mazima omuvubuka oyo amuyambye nnyo – ela nga alina okuba nga wamugaso nnyo. Omuvubuka ono yali amutegezeza nti waaliwo ennyanja endala eli mumambuka, mu bantu ba Waganda — mbu ela eyinza okuba nga kyekyokudibwaamu kyeyali anoonya.
Bwatyo Mw. Speke n’amuwelawo omulimu atambule naye mukuyigga ennyanja eyo. Ela oba mutuufu bwogamba nti mungeli zonna, ono omuvubuka yeyaleeta Speke eno waggulu ku Nalubale. Ebyo bbyo Burton, eyali kundili, teyabimanya.
Speke mukujja eno ku Nalubaale yajja n’obuzibe’bwe awamu n’obwakiggala’bwe. Ate nga nennyanja Nalubaale yali ejjude obuzinga obujjudde ensiko – nga kizibu okulengela ewala. Kale nno, ennyanja yaffe yalingiza ningize, neyeyongelayo. Ate jjukila nti mukaseela kano, Mw. Speke yali mukoowu nnyo wakati mu bizibu ebyenjawulo ebyaali bimuyinze.
Sidi Mubaraka Bombay yali muvubuka gwosobola okuyita “Kula Zikulabe”. Nga kakyaali akalenzi akato, akasibuka mubuwangwa obwa Yao, Sidi yali ali ku nnyanja gyebayita Nyasa, oba oluusi gyebayita Malawi, Abawarabu abaali batunda abaddu nebamukwata. Mukumufunamu ssente, nebamutunza omwaami omuyindi. Omwami ono n’amukulubbisa n’amutwaala ewaabwe, mukitundu ekiyitibwa Sindh. Bwatuuka eyo nga akaseela kayisewo, mukamaawe n’afa. Bwaafa, Sidi n’avaayo eyo n’akomawo eno ewaka. Bwatuuka eno, yasibila Zanzibar.
Kati embeela eno yonna gyeyajja’nga ayitamu, nejja emuwa obusobozi obutaali bwabulijjo. Yali ayogela ennimi nnyingi — ezawaka nengwiila, omwo nga mwogasse Oluwarabu, Oluswayili, Oluyindi (Hindustani), ng’ela asobola okugegeenya Oluzungu. Okwo kwogatta okuba nga Sidi yali mukugu mukusoma embeela ng’ela awanaaba obuzibu nga alengelelawo mangu, n’ayiiya ekiddako.
Sidi Bombay bakwata mukwaate okumutunda mu buddu
Mw. Speke akugamba nti Sidi yamwagala nnyo ela nga tamuva kulusegele. Nti ela yali muvubuka mukozi nnyo ate nga alina amazima gonna gosobola okulowoozako — nga wampisa ate nga mwegendeleza nnyo ekyensuso. Yalina obusobozi obukakkanya abantu abakambuwavu ela obukugu obwo bwabayamba nnyo nga basomoka okutuuka eno waggulu ku Nalubaale.
Sidi yayambanga nnyo mu kuvvunula ennimi ezenjawulo ate nga alina n’obusobozi okukulembela obulungi. Ela Speke bweyamufuna ati, tebaddamu kubula; kubanga Sidi yali amanyi bulungi okukuumila bulyomu kumulamwa nga batambula — awatali bya kwesulubabba. Ne Sidi kenyini yalina mukwano’gwe gweyali ayita Mabruki bwebakwatagananga naye.
Speke Asemba Sidi ewa Morton Stanley
Okumanya Speke yasiima obuwereeza bwa Sidi, bwe yaddayo ewaabwe, ela nekitegelekeka nti Henry Morton Stanley yali wakugya eno mu Afrika ayigge Mw. Livingstone eyali atebelezebwa okuba nga yabula, Speke n’amuwa kumagezi. Yamugamba nti bwatuuka eno, anoonye omuvubuka gwebayita Sidi Mubarak Bombay. Yamugamba nti ajja kumusobozesa okutuuka kukiluubililwa kyeyalina awatali buzibu bwona. Ela bwekityo bwekyaali. Henry Stanley teyafunamu yadde obuzibu okutuuka ku Livingstone gweyasanga nga yali yakwaama olw’obulwadde obwaali bumwesibyeeko.
Ne Henry Morton Stanley olwamala okutuuka kubilubililwaabye, n’asemba Sidi eli Omukessi omulala. Mu 1873, waliwo omukessi omulala, gwebaali bayita Verny Lovett Cameron, omungereza eyasookela ddala okutalaaga Equotorial Africa yonna nga ayita ku mazzi. Ono naye yayambibwa nnyo obuwereeza bwa Sidi. Okusookela ddala, yali aketta bitundu bya Congo-Zambezi. Kale n’olwekyo, Sidi Bombay yawereeza abasajja abo ela nabo nebasiima. Okumanya baasima, aba Royal Geographic Society nebasalawo bamuweleeze’nga akasente ka pensoni.
Verny Lovett Cameron . Yali mukessi
Ensonga gyetutaayogelako ku Hanning Speke eli nti bagamba nti Speke bweyali mu Lubiri lwa Ssekabaka Mutesa I, yakyaalilako’ko omuzaana omu, okumubuzaako. (Queen-Dowager yaani oba??) Nga ekilabo, nebamuwa abawala babili yegweele. Omu yali wa myaaka 18. Omulala nga wa 12. Speke yasinga kusiima oli omukulu. Ate mbu yamwagalila ddala, ela n’amuzalamu omwana. Oyo omuwala omukulu’ko nga amuyita ‘Meri’. Omuto nga amuyita ‘Kahala’. Mbu naye ebyembi, Meri ate ye teyasiima bulungi omuzungu. Mbu’ela baafuna obutakaanya nebaawukana. Speke nekimukosa.
Hanning Speke nga akyadde ew’omuzaana
Mpozi ate n’kilala, Speke yemusajja eyaseesa mubukyaayi obwafuna entobo eyaddala mumawanga amanene ag’e Rwanda. Mukubawulamu obulungi, yagamba aba Tutsi nti bebasingayo okuba abenjawulo ku ssemazinga wa Africa, nti ela ebitabo ebisinzibwa bibogelako, nti ela bebalina okuba waggulu waba Hutu munsengeka eyebintu. Wama awo nondabila obukyaayi webunnyikila.
Captain John Hanning Speke yawangaala emyaaka 37 gyoka naye n’akola amakula mubulamubwe agawela, naddala nga omutunuulidde neliiso elingereza.
Enjawukana Wakati wa Burton ne Hanning Speke
Mukuwnzika ensonga eno, Mw. Burton ne munne Speke b’atuuka nebawukana bubi nnyo olwensonga nti Burton yagenda n’alwaala nga bwetulengedde. Speke bwasanga ennyanja Nalubaale, ela n’ajituuma elinnya Victoria, ye n’akakasa nti ensulo ey’omugga Nile, teva ku Tanganyika, wazila ku Nalubaale.
Kati bwaava awo, yadduka zambiro n’agenda buteleevu e Bungereza, nga July 1858. Bwatuuka eyo, n’alangilira mubutongole nti yeka, bwanamunigina, bwanapeke, yeyali azudde ensulo y’omuga Nile.
Obuzibu webujjila, baali baateesa ne Burton nti balina kulangilira bonna nti ensulo bagizudde bonna – babiri.
Burton nga azeeyo e Bungereza
Kati Speke bwalangilira n’agamba nti yekka yeyali azudde ensulo y’omugga, nebamukubila emizira, nebamuteeka nemubitabo ebyebyaafaayo. Burton agenda okuyingila Bungereza nga mu kibalo taliimu, tebamwogelako, nga n’ebigenda mumaaso tabimanyi — n’anyiiga — ela naye n’atandika okumwogelera ebisongovu. Ela n’agamba nti Speke yali musajja omulimba awedde emilimu — nti’ela ensulo gyeyali ayogelako yali si ye ntuufu.
Speke Alungamya Ensonga
Okwagala okuteleeza ensonga eyo, aba Royal Geographical Society nebaddamu nebakwaata munsawo. Nebawa Speke sente n’asobola okudda mu Africa okuteleeza ensonga eyo.
Ku guno omulundi, James Augustus Grant yeyali amuyambako. Mu July 1862 baali mu Lubiri ewa Kabaka okufuna olukusa okulambula ennyanja, ela bebaatuuma kiyira Ripon Falls.
Speke bweyafuna olukusa okuva ewa Ssekabaka Mutesa I okulambula ennyanja Nalubaale, agenda okutuukayo, nebamugamba asigale ku luuyi olwa Buganda nti olukusa lwebbaluwa gyeyalina eyo gyelwaali lukoma okufuga. Ebiseela ebyo nga entalo z’amawanga nga nnyinji.
Entalo zamawanga
Ela kiliza kikwewunyise nti ela olunaku Speke lweyagenda kunsulo eyo eyali emubobbya omutwe, Grant teyasobola muwelekela kubanga okugulu kwaali kumuluma nga tasobola kutambula, nga bwetwakilabye. Yasigala mu Lubiri nga alya ffene.
Olwava awo, Speke n’ayambuka, n’agenda e Gondokoro mu Maserengeta ga Sudan, n’asangayo Sir Samuel Baker ne mukazi’we. Ela neyeyongela okwambuka mpaka mu kibuga Khatoum. Bwatuuka eyo, n’asindika ebbaluwa nga agyisindikidde aba Telegram, olupapula lwa Mawuire, mu London, ekya Bungereza, nga abagamba nti “Ensonga y’ensulo y’omugga gwa Nile, egonjoose”.
Mu 1863 Speke naddayo okubakakasa nti mazima kyeyali yalaba kyaali kituufu. Naye ela Burton nabiwakanya. Kati nebategeka wabeewo okuwanyisiganya ebilowoozo nentegeela bakakase ani mutuufu ani mukyaamu (debate). Olunaku lwebategeka lwaali lwa 15 September 1864. Naye ebyembi olunaku lwaali lutuuka luti, Speke aba agenze okuyigga ebisolo, emmundu ye yennyini, nemukuba essasi, n’afa.
Banabyafaayo bakyebuza nti mazima gwo bwegwaali? Abantu bebuuza, yetta yeka, kaali kabenje, b’amutta? Kyaali ki? Nze naawe.
Naye oluvannyuma Morton Stanley bweyajja wano kubutaka, n’akakasa Abangereza nti Speke yali mufuufu. Ensulo ey’omugga Nile esibuka wano ewaffe, ku Nalubaale, wakina L. Victoria.
**
Okunyumilwa n’okuyigila kubyafaayo kiba kintu kilungi nnyo ekikuwa enkizo. Wandyagadde Okumanya ku Mumbowa Owenjawulo Ennyo Gw’otamanya – Eyali Omukessi Owenjawulo Mu Byafaayo Bya Buganda? Omwami oyo yali Mesusera Kamya, Omukaabya. Akatabo kano K’akuwuliriza Buwuliriza. Kafune wona mungeli yona.