Nga tetunabaako kyetusima kili awo munsonga zino, abantu abamu bateeka ebyafaayo mu kifo ekyawansi, kale oba’olyawo, mukifo ekitalaga nti ebyafaayo si bikulu kimala. Eyo eba nsobi.
Ebyafaayo bikulu nnyo ela byamugaso. N’olwekyo naffe abasazeewo tutambuze amaaso nebilowoozo munsonga zino, leka tutwaale akadde twejukanye mubimpimpi omugaso ogw’ebyafaayo. Ekyo nakyo kyamugaso mukawefube ono owokuzimba guno omusinji gwetusima ogwokugobelela enkyuukakyuuka mubyafaayo bya Buganda. Ekyo kijja kutuwa enkizo gyetwetaaga.
Abasomesa enkumu betuze tuwaana n’okusuuta mubyafaayo kino kyo bazze bakyogela nti “abo bonna abatafayo kujjukila byafaayo byaabwe, omusango ogwokudda munsobi ez’akolebwa abasooka guba gulina okubasinga”.
Ekituufu kili nti ebyafaayo tulina kubitunuulira nga enkola engazi ennyo eyasooka; ela nga nambulukufu okuzaama, eliwo okutulabula. Ebyafaayo eba system nnamba. Ela abantu gyebakoma okumanya ebyafaayo byaabwe gyebaba baggya okukoma okuba abetegefu okwetegekela ebinajja mumaaso.
Ela kyova olaba nga abakugu mukutulugunya abantu, bafuba nnyo okubikka, okuzibikila, n’okufutyanka ebyafaayo. Kulwaki? Anti ekyo kiba kitegeeza nti mu system yo — eyebyafaayo’byo — wemubaamu amalibu, kiba kitegeeza nti ekifananyi ekilambulukufu, ng’ela kijjude, oba tokilina. Baba bakutadde munkola ey’okutebeleza obutebeleza.
“abo bonna abatafayo kujjukila byafaayo byaabwe, omusango ogwokudda munsobi ez’akolebwa abasooka guba gulina okubasinga”.
Obukugu bwoba wetaaga okugatagatta ebipapajo byolinawo osobole okuzuula amazima buba bulina kuba bwawagulu. Ebyembi nabwo sibwangu kusanga. N’olwekyo obulamu’bwo buba bwekubidde. Ensobi bajjajjabo zebaakola oba ogenda kuziddamu, ng’ela bwebabakola, nawe bakubandule omutwe’ogwo gunyantuke. Ekyo si kilungi.
Abakugu mukutulugunya bakimanyi nti ebyafaayo nakyo kyakulwanyisa ekitaliiko kabuuza. Ela kimanyiddwa bulungi nti okuteleeza embeela eliwo k’akano naye nga tesanyusa, ebyafaayo kiba kiddukilo kikilungi ekijjude okuyigiliza oli kwasobola okwesigamako.
Yali muganda wamwe Martin Luther King Jr. eyakilengela n’agamba nti “ssi ffe ababumba ebyafaayo. Ebyafaayo byebitubumba”. Mubufunze, ssi ffe bananyi’byo, byebinanyini ffe.
Okusomooza mukutunuulilra Ebyafaayo
Naddala nga otunuulidde ebyenjigiliza wano ewaffe, twajjamu ekilowooza ekitunuulila ebyafaayo nga essomo elijjudde okujjukila obujjukizi ebyedda omutaliimu nsonga z’akulowooza. Ela n’olwekyo, nti ebyafaayo tebilina mugaso omwana okubisoma. Ela okwo netwongelezaako okubilaba nga omugugu kubwongo bw’omuntu.
Naye ekyamazima, ebyafaayo bilina kuba kitundutundu eky’omugaso kubulamu obwabulijjo. Ela kyova olaba abo bonna babusukka nsalo betuvunnamila n’okusinza netubasinza, ebyafaayo ebyaabwe babisinza nga ediini. Ffe netubagobelela kiwalazima — ngeli yandali ku nsenke.
Obuzibu obulala nebujja mungeli nti amakungula gebyafaayo tegalabwa, nga bwonogamba nti Ssekasi yakubye bulooka omutwaalo mulamba. Oba nti musaawo Nansikombi yajjanjabye okugulu kwa Ssekatuuka okwabadde kumutujja. Omugaso gwebyafaayo tegupimwa gutyo. At’ela tegulabilwaawo kuba ela si gwabwangu gutyo — mbagilawo.
Ebyafaayo Katuuti Okulengela Ebili Ewala:
Abantu bebamu ggyo neluli – abo abasooka ne bano abakyassa. Endowooza zaabwe, endaba, endabika, n’enkola; byonna ebyo bilina amaanyi agenjawulo okutuuka okusala ensalo z’emijiji. N’olwekyo ebijjukizo byabino byona byayingila ela nga bikyayingilira ddala mubantu – okutuuka okunnyikila n’okuyisa kubusobozi bwendowooza ez’obwongo. Bituukila ddala mpaka mumusaayi nemumagumba.
N’olwekyo, ebyafaayo bituwa akatuuti kwetusobola okusinzilira okulaba, okwetegereza n’okutegeera engeli abantu gyebeyisaamu. Kino kikulu nnyo kubanga ebyafaayo lyesomo elisokelwako mukubaako ekyenjawulo ekitukibwaako. Amadiini ggo kino bakimanyi bulungi ela bakiteeka munkola eyawaggulu okutuuka okuba nga abagobelezi abagobelela batuuka okuggumila mundowooza nti “enkola gyebatambuzaamu obulamu bwaabwe yenkola entuufu yoka ela nga bakilaba nga eky’obutonde”. Ela amadiini geego agakyatuuse wegatuuse okusobola okusiguukulula emilandila gy’abantu nebava kubuwangwa bwaabwe, nebyafaayo, mungeli elabwaako. Bakugu mukuyigila kubyafaayo nengeli abantu gyebeyisaamu.
Ebyafaayo Kyakulwanyisa
Mubanamagye, lino liba ssomo ddamba naddala kunsonga ez’okuwamba. Nga tuyambibwako technologia ono akuze, ffena kati tukilaba bulungi nga tetutte myaaka namyaaka nga tusoma engeli ebyafaayo gyebikozesebwa nga ekyokulwanyisa.
Teli kiffudde kampuni ya Facebook (omukutu ku mutimbagano oguggata abantu) okuba eyamaanyi okujjako okwongela okuyiga enkola nendowooza y’abantu. Newankubadde bakozesa ekigambo data-mining, naye mubufunze baba mukikolwa ekyokusimila ddala wansi okutegeela enkola eyabantu. Baba basoma byafaayo byabantu. Ela kyova olaba nga abamu, kampuni ya Facebook, n’obutuuti obulala obwa social media, tebabulaba nga obuweleeza obugatta abantu, kyokka. Babulaba nga obutuuti obukugu mukuketta abantu.
Kale n’olwekyo ebyafaayo byamugasso nnyo jjo ne luli, leero nenkya. Okuba nga tubisoma oba nga tubisomesa bubi tekijjawo mugaso gwabyafaayo omusukulumu ennyo.
Kuba kusoma nakutegeela byafaayo omuntu yenna okusobola okubala entalo munsi ejjudde emirembe. Kubanga omubazi yenna ye aba atunuulila munda, so si kungulu. Ensonga eli abantu yentikko yabuli kimu, bebazimba ela bebazimbulula – nga bayise mungeli gyebakolamu byonna byebakola.
Ebyafaayo kwetusinziila okutegeela ebilijja mumaaso nga tusinzidde kubyaliwo kubanga ebiliwo kakano kabanga akatuuti obutuuti okuzimba oba okuzimbulula.
Ebyafaayo Telekelo
Ebyafaayo telekelo ly’okumanya n’obubaka bwokumanya obwabantu. Ebyafayo katiba kwetusinziila okugezesa engeli gyetusobola okutuuka kubilubirilwa. Okwo kwetusinzilira okutegeela obwaguuga bwekigambo “nkyuukakyuuka’ – mu baana, abakulu, abavubuka, abakyaala, abaami, abembuto, eby’obufuzi, ebyenfuna, eby’obuyiiya, emisinji mwetutambulira nempagi zetwesigamako okubaako byetusalawo.
Okusoma, okutegeela n’okupangulura ebyafaayo mungeli ekola amakulu buba bukugu obwetongodde. Ebyafaayo binyuma, bisanyusa, bibumba, bigatta, byolesa, bikyamula ela bigunjula. Ebyafaayo bizaala esuubi, bisisimula, bigumya ela bizimba. Okwo kubyafaayo kwetusinziila okwetegeela ffe nga abantu netusinziilira okwo okubaako engeli gyetwegelagelanya kubantu abalala.
Ebyafaayo Biwagala
Okwetanila okutegeela ebyafaayo kikuwa obusobozi bwobwongo okutunuulila ensonga n’eliiso elyetegeleza olwo n’osinzilira okwo okuzimba obukakafu, okuzimba ebitalabwa, nga ekika ekyendaba ey’ekintu. Kino nakyo kikulu nnyo. Kii ekyaletela kili okubaawo?
Oba wetaaga okuzimba obusobozi obuvvunula enkola n’entegeela, ebitakwatagana n’ofuba bikwatagane, ela bikole amakulu. Okwo n’ozimbilako endaba ezenjawulo engeli ekintu gyekisobola okulabwaamu — ekyo nekiba nga kijja kukuyamba okuwagala ensalawo’yo mubulamu buno obwabulijjo mwetuwaangalira.
Wewaawo. Kale bwegutyo bweguli. Ebyafayo bikulu ela ffena wano kyetukola kikulu. Tuyige nga bwetunyumirwa — wakati mukufumintiliza.
Mukwetanila ebyafaayo okizuula nti mubulamu muzze mubelamu okuwamba n’okufuga abantu oba ebilubililwa byaabwe. Ebyembi, okusinziira engeli gy’okitunuulilamu, bakugamba nti okuwamba abalala yengeli yokka eyesigamwaako okukakasa eddembe’lyo n’okufuna oba okuzimba obulamu obwabulijjo obw’omutindo ogwawagulu. Kyova olaba nga ebyafaayo bitambulira nnyo kukuwamba n’okuwambibwa.
Mukuwunzika, kyamugaso nnyo okuzimba obuvumu n’okwetanila okuzimba obusobozi obwo’kulowoleza waggulu at’ela mungeli eyenjawulo. Kuno kwogata okwetanila okukwaata amakubo agabadde gatakwatwa, obuvumu okuvumbula n’okuzuula ebitasoboka; n’okuvunamya ebizibu ela n’okubiwangula. Mubufunze, wetanire ebyafaayo.