Makaayi yeyaleeta Obuminsani mu Buganda. Yalina akatabo (diary) mweyawandiika’nga ebyaama’bye ku Buganda, kubantu abaamwaniriza, nembeela eyaliwo.
Bino Byooba Osubira:
- Zuula Engeli Gyebaali Bakwataganamu ne Ssekabaka Mutesa I
- Biki byeyazuula, Byeyewuunya, Byeyevuma, ne Byeyegomba?
- Ogenda Kubikkuka Amaaso Mungeli Gyotajja Kusanga Wantu Walala Wonna.
- Kakasa Amaanyi Agaali Gavumbekedde mu Buganda N’entegeka Eyaliwo.
It’s FREE. K’abwerere. Kali Muluganda. Nkasindika ku Email yo.
Buli abafunye kukatabo kano bewuunyizza ela nebasiima. Nawe kozesa omukisa’gwo guno.
Mesusera Kamya
Mubwaaguuga bwo’bwakabaka bwa Buganda bwona, mukitiibwa ekibuvumbekedde okuzaama, mubuvanjuba nebugwanjuba, muzze mubelamu abasajja ebikonge, ab’esigamwaako.
Mesusera Kamya zezimu kumpagi enkulu ez’aweleeza n’obwesimbu ela nga z’esigamwaako nnyo okuzimba n’okutumbula kino ekitiibwa kya Buganda ekyaava edda.
Kamya yali mutabaazi, omulwaanyi namigge, omujaasi engwanguli, omukulembeze alengela ebili ewala, ela omukessi ow’ekyaama owa Bakabaka abenjawulo mu byafaayo bwe Buganda.
Obuganda webwaali wakati munkyuukakyuuka, ba Kamya be balwaana okulaba nga Obuganda tebusulibwa omuyaga ogwaali gubulumbye. Wuliriza ebyafaayo bya Buganda ebinyuma okukamala,nga kwogasse n’ezimu kuntalo Kamya zeyalwaana ne banne; nga Katikiro Honorato Nnyonyintono, Alex Ssebowa, Stanislaus Mugwanya, Sir Apollo Kaggwa, n’abalala.
Kamya yaweleeza mumulembe ogwabasekabaka Mwanga II, Kiwewe, Kalema, Chwa II ne Muteesa II. Ela yafuna ebitiibwa kubakabaka be benyini ne government ez’enjawulo zeyawelezaamu. Kamya yatakabana nnyo ela agwaanye okumanyibwa n’okujjukilwanga lubelera.
Omuntu nga Bwalowooza
“Omuntu nga Bwalowooza” oba ‘As a Man Thinketh’ akatabo kenavvunula okukazza muluganda ela nenkakusomera – akawandikibwa omwami Omungeleza; James Allen, katabo kasufu nnyo okuzaama.
Akatabo kano tekageenda kukyuusa bulamubwo kyoka, nendaba gyolabamu ebintu, naye kagenda kuwa eliiso elyokusatu – mukikolwa ekyokuwagala obwongo’bwo okutuuka ku ssa elyokulowooza okwokuntiko – anti’ela obwongo kyekilabo ekikyasinzeyo omugaso mubulamu.
Obubaka obukalimu bwakikungu nnyo ate nga bwabuwanana mumuwendo. Ogenda kwetaaga okukadingana enfunda eziwela kasobole okukubugaana. Wazila okukafunamu ennyo olina okukiliza okuggulawo obwongo’bwo kubanga kko tekesigamye mpagi zabusosoze, naddala ezo ezesigamye ebyenzikiliza, endabika n’obuwangwa. Kano kko kabuli muntu awatali kumulamula oba kumutikka nkoligo nabuwangwa bwabalala.
Omuntu nga bwalowooza mumutima gwomutimgwe ela bwatyo bwaali.
Kale bwotyo nawe ogenda kufuuka ekilooto’kyo ekikyasinzeyo okuba kuntiko.
Lowooza Ogaggawale
Akatabo kano “Lowooza Ogaggawale” oba “Think and Grow Rich” k’awandikibwa omumerika gwebayita Napoleon Hill. Kano kekatabo akakyasinzeyo munsi yonna okuyigiliza abantu okutuuka kubuwanguzi obwekika kyona, nga muno mwemuli n’okubayigiliza okuva mubwaavu okutuuka okufuuka banagagga fugge.
Obubaka obuli mukatabo kano zaabu omweleele eli obulamu’bwo. Kekatabo akalimu eteeka ly’obutonde elifuga obuwanguzi bwona. Ela kalambika bulungi ennonno z’obugagga obwensibo n’obuwanguzi bwona.
Omumerika ono, yawaayo emyaaka abili bweddu, egyobulamu’bwe, nga anonyeleza nga muno mwemuli okuwayamu’ko nebanagagga abayitilivu abaayisa ebikumi bitaano; abaali basingayo munsi ya Amerika. Ela nga naawe bwokisubila, yazuula ekyaama.
Ekyaama kino kitusiza abantu banji nnyo kubuwanguzi obusukulumu. Amateeka n’emitendela mukatabo kano mangu okugobelela. Naawe yona eyo gyooli kiliza oketuseeko kati – okawulirize.