fbpx Skip to main content

AMAZIMA AMATUUFU LWAKI KABAKA MUTESA I YAYITA ABAMINSANI

Henry Morton Stanley

Omwaami omulala eyagatta etoffaali eddamba munkyuukyuuka eyebyafaayo bya Buganda, ye Mw. Henry Morton Stanley. Leka naye tumwogeleko katono nnyo mumulimu guno gwetuliko ogw’okusima omusinji mukwetegereza enkyuukakyuuka ezizze zibaawo mu Buganda. Eky’omukisa omulungi tuzze tumukonako wano newali.

Sir Henry Morton Stanley yazaalwa mu nsi eya Wales, nga 28 january 1841 ela najja akulira mumbeela etaali nyangu, akageli gyeyali omwana enfunzi. Nga yaakaweza emayaka 15, yafuna akakisa okuwereeza ela neyegatta kubasuubuzi abaasomosa’nga ebyamaguzi nga bayita ku mazzi. Kubimu kubibinja byeyawelezaamu mwemwaali ekyaali kikulembelwa omwami eyali ayitibwa Henry Stanley. Mwono omwaami, Morton gweyebbulamu ammanya. Agagge, John Rowlands, naasawuka eli.

Emilimu Gyeyakola

Ela bwaatyo n’avubukila mweyo embeela ey’okusubuula. Oluvannyuma yafuuka munnansi wensi y’America – wuuyo n’ayingira amaje. Awo weyava okufuuka mu na mawulire nga akolera ekitongole ekya New York Herald. Mwobwo obuwereeza mwajja omukisa okufuuka omutindizzi wengendo ezigendelera okuvumbula n’okuzuula ebipya. Ela mwoobo obuwereeza mweyafunila akakisa ak’okuweebwa obuvunanyizibwa okwetaba mu bukulembeze bwamatwaale agaafunibwa.

Ekilala, mw. Stanley yali muwandiisi ow’ebitabo nga awandiika kwebyo byeyajja nga yetabamu. Mukuwunzika, n’amaliriza nga ayingidde ebyobufuzi. Naye mubyona byeyakola, ebyafaayo bisinga kumusiima olw’omulimu gweyakola ogwokuyigga Dr. Livingstone eyali atebelezebwa okuba nga yabula; ng’ela bwetuzze tukilaba.

Mu 1871 naamugwaako awo emmanga mu Ujiji, e Tanganyika.

Omwami, George Bennett, publisher w’olupapula lwamawulire, New York Herald, yalagira Henry Stanley agende ayigge Dr. Livingstone. Ela bwatuuka e Zanzibar, n’akungaanya abantu ebikumi bibiri, bwebatyo neboolekera okuyingira munda mubuvanjuba bwa Africa – nga 21, March, 1871. Kyamutwaalira emyezi nga munaana okuzuula Dr. Livingstone.

Stanley, nga asimbula, yaleka aagumizza bakama’be, nti “Yonnayona gyaali, mwe mukakase kintu kimu kyoka nti sigenda kuweela okumuyigga. Bwaaba mulamu mugyakuwulira kii kyanaabagamba. Bwaba nga mufu, ngenda muzuula ela mbaletele enjole z’amagumba’ge.”

Azuula Dr. Livingstone

Ela bwegutyo bwegwaali. Yamuzuula. Oluvannyuma Stanley naddayo ewaabwe ela nebwamwaniriza nga omuzira. Awo kwekuwandiika akatabo keyatuuma “Engeli gyenazuulammu Livingstone” – How I found Livingstone.

Mu 1874, nga alaba etuttumu’lye likendedde, kwekusalawo akomewo wano mu Africa okwongereza ku mulimu Livingstone gweyali atandiseeko.

Bwaatyo, mu 1875 neyessoga mu Buganda. Twalengedde nga Ssekabaka Muteesa I amwaniliza mu Lubiri, e Rubaga. Stanley yasanga ekibuga ekitegeke ela nga Kabaka, eyali akikulira, nga aliko abantu abamwetoolodde abaali bawera emitwaalo ena milambilira.

Stanley yetegereza ela n’agelagelanya obusobozi n’obukugu bwabajaasi ba Buganda. Byeyazuula’nga nga abisindika ewaabwe.

Yanyumya nga bweyabala abalwaanyi abaali bawera 125,000 egyabantu abayolekera mu lutalo, okulumba ebituundu byebuva’njuba – nga bili kumaato agaali nga bibiri mwaasatu.

Okuwamba o Bguanda

Mukujja mu Buganda, omukisa gwaakwata Stanley mungeri nti yasanga Ssekabaka Mutesa I nga mwetegefu okubaako abakugu bawayamu’ko nabo kunsonga ez’okunyweeza o Buganda, naye okusingira ddala, okubukuuma eli abo abaali betegese okubulumba.

Omanyi, Abamisiri b’alina ekilubililwa okulumba amawanga agaali galinaanidde Omugga River Nile. Ela Stanley atuuka mu Buganda nga Abamisiri bamaze okwefunza Abachooli. Naye ate nga e Banyoro bakyabalwanyisa. Kati nga Kabaka akimanyi nti oluva ku Bunyoro, bagenda kulumba Buganda.

Nga ogyeeko abakessi okuva mu ba Misiri abaali balengedwaako mu Buganda, Misiri yali yasindika dda omukungu mu Lubiri, omwami ayitibwa Linant de Bellefonds. Kale nga mwelalikilivu.

Kati awo, Mw. Stanley, kwekwagala okukozesa akakisa ako okuyingira obwongo bwa Kabaka. Yayagala amufuule omukristaayo naye ng’ate Kabaka ebyo tabiliimu nnyo. Okusinga, nga Kabaka ayagala nsonga zabyakulwanyisa ebinakuuma o Buganda.

Stanley n’ateesa nti Kabaka abawandikire ebbaluwa mubutongore, ayite Abangereza bajje basomese abantu’be eby’emikono, okukukola emmundu awamu n’obuganga bwaazo.

Eyo ye bbaluwa gyetumanyi eyayita abaminsani, aba Church Missionary Society – nga bwetwaalengedde.

Church Missionary Society

Ela nga bwetwakyogelako luli, mu 1877 Reverend CT Wilson ne Shergold Smith, nebanaabwe abalala nga munaana, nebayingira o Buganda, nga bajjidde wansi wekibiina ekyo. Oluvannyuma Alexander Makaayi naye nayingilawo mu 1878.

Mu 1879, aba Falansa, ba Faaza Lawudel Mapeera ne Brother Amans, aba Catholic White Fathers, nabo nebeessoga wano kubutaka.

Kabaka yali abaagaza n’okubasuubilamu okumukuuma n’okukuuma o Buganda. Ekyo kigumye ela kitumbule ekifo’kye mu kitundu, nga ayambibwaako emmundu zeyali abetaagako.

Ela okwo kwogatta nti yali ayagala bamutendekele bulungi abajaasi’be; olwo asobole okugonza o Bunyoro, ekitiibwa’kye akyongelemu amaanyi, munda newabwere wa Buganda.

N’ekilala, Abawarabu baali bamusensedde nnyo nga kitandise okumwelalikiriza. N’olwekyo, nga enkola endala yona eba yeyolesezza, nga mwetegefu okujiwuliriza. Kabaka ela yali ayagala abantu’be basomesebwe ela bakuguke mubyemikono, ebyokuweesa, eby’obulimi, okusoma n’okuwandiika. Nekilala, yye ng’omuntu, yali ayagala abantu abava ebunaayila kubanga abasinga bajja’nga n’ebintu ebipya, ebyenjawulo; nga muno mwemuli ebilowoozo ebilungi, ebilabo, omuli engoye neby’obulungi ebilala.

Omukama Kabarega n’Abamisiri

Naye eky’omukisa omulungi, Omukama Kamurasi, omukulembeze eyali atwaala Bunyoro Kitara, bweyajja omukono mu ngabo, eyamusikira, Omukama Kabarega, nga ye’ate mulwaanyi wankizo nnyo. Oyo yeyagoba aba Misiri nebadduka okuva mu matwaale ga Bunyoro-Kitara. Ekyayamba ennyo Omukama oyo okusobola okugoba aba Misiri mu matwaale’ge, zaali mundu zeyali yafuna.

Kale n’olwekyo, ebbaluwa eyo yeyavilako ediini y’obukristaayo okujja mu Buganda. Naye newankubadde abakristaayo baali bajja dda mubitundu ebyenjawulo wano ku Ssemazinga wa Africa, webateleela mu Buganda, ekitundu kino nekifuuka eky’omugaso ennyo. Mu Buganda webasinziililanga okubunya n’okuggumizza enzikiliza n’obuwangwa bwebaali baleese mu bitundu byona ebya Africa.

Congo Baamweyasimula

Kati Mw. Stanley bwaava mu Buganda, mu 1878, yasibila mu kitundu kye Congo. Ela n’akizuula nti ebitundu bye Congo bilina eby’obugagga ebitamanyi alina. Bweyatemyaako Bungereza ate yo neetalaga bwagazi kweteba munsonga z’okwefunza congo nga amatwaale gaayo. Ogwo omukisa Kabaka wa Bubirigi, King Leopold II of Belgium, n’agwekwaata.

Naye kimanye nti aba Congo, ensonga eyo yabafuukira ekikolimo kyenyini. Olwensonga, Kabaka we Bubirigi yagamba banne nti ye teyalina kyamaanyi kyeyali yetaaga mu congo okujjako okubatwaalira ediini y’obukristayo. Amazima geyali abisse gaali nti yali ayagala kwetwaalira bya bugagga ebye Congo. Ate ebyobugagga byeyajjayo tebyaali byansi yona ng’oli bwayinza okulowooza. Byaali bibye yekka nga omuntu.

Nanyini kussagula, Mw. Stanley, nebamukwaasa omulimu okukulembela emilimu egyekilubililwa ekyokwefunza obugagga bwe Congo.

Awo Mw. Stanley n’alyooka adda kuba Congo n’abatulugunya nga teli amukuba ku mukono. Yali mukambwe nyo gyebali ate nga tasosola baddugavu nebasosola.

Ela mu bulamu’bwe ensonga ya Congo lyafuuka ebbala ebbi kumilimu gyeyatusaako engalo.

Ensonga za Congo bweyazituusa weyazituusa, mu 1887 nebamuwa obuvunanizibwa obulala obwokutaasa Mw. Emin Pasha, Omugilimaani, eyali alumbiddwa abayekela abasilaamu abaali mumaserengeta ga Sudan. Newankubadde yamala n’atuuka ku Emin Pasha, mwekyo ekikwekweeto yafiilwa abajaasi banji nnyo, abatibwa endwadde n’obulwaanyi bwebaalimu naabo bebaali balumbye.

Naddayo e London, Bungereza

Mu 189 Mw. Stanley n’asitula buto ate, naddayo e London, mu Bungereza. Bwaatyo neyeyongera okuwandiika ebitabo n’okusomesa. Awo weyava neyeesogga eby’obufuzi.

Mu mwaaka 1904, Mw. Stanley naafa. Bweyafa, olwobukambwe bweyayolesa n’okutulugunya abantu e Congo, omulambo’gwe nebagaana okuguziika mu sinzizo elyebyafaayo omuzikibwa ab’olulyo olurangira oluze lubakulembera, nga okwo kwogasse n’abazira bensi eyo. Esinzizo elyo baliyita Westminster Abby, elili mu kibuga London, ekya Bungereza.

Kale, mwekujjukanya, mumusinji guno gwetusima, tugezaako kulengere amazima agagamba nti abasajja banno abajja mu Buganda okukyuusa ebyafaayo, baali basajja bikonge mu biti byaabwe ebyenjawulo. Mukwejjukanya ensonga eyo, kituwa ekifanaanyi ekigazi mukawefube yenna nga tuwewa obuzito bwemilimu egyetagisa okukolebwa mukutereeza ebyaasoba.

Kale byeebyo ebitonotono ebyogera ku mwaami ono. Ela kantwaale akabanga kano mbajjukize akatabo akawoomu ennyo, akayigiriza ela nga kanyuma okufa, akoogela kumutabaazi, omukessi ow’ekyaama, Omumbowa Owenjawulo Ennyo, gw’otomamya. Mesusera Kamya yalwanilira nnyo ekitiibwa kya Buganda mu biseera o Buganda webwaali wakati munkulungo eyenkyuukakyuuka eyali telabwangako. Akatabo kano kafune kati, okawulirize. Nnyiga wano.

Leave a Reply