fbpx Skip to main content

Abasooka okujja mu BUGANDA Baali ba Namajje Abatendeke Obulungi.

lyembadde nsaba tukwaate lyeelyo ely’okugobelera amajja ga Makaayi, Mapeera, n’Abawarabu wano mu Buganda — tulandile awo — mpaka gyekinagweela — bwekiba kyakuggwa. Mukwetegeleza, okugobelera n’okwekebejja ebyafaayo byabantu banno mu Buganda, ndowozezaamu nti lino lyekubo eligenda okutusobozesa okukiwumba mungeli ennungi, okukinyumilwa obulungi, n’okubaako engeli gyetukinyikizaamu mukutwaliza awamu.

Lwaki bano betulonzeemu okusiinzilako? Ensonga enkulu yiino. Banno bebaasinga okusensela obuganda mungeli ey’omuggundu, mungeli elabwako n’omuzibe. Ebintu n’entegeka‘zaabwe zebaleeta wezili nnamu bulungi kulunaku luno olwaleero ela nga zikyassa omuka omulamu — gu okisigeeni.

Kabekasinge, Abaganda enkumuliitu kwaabo nawe bomanyi ebintu ebyo ebyaletebwa nabo byebasinga okukulembeza, byebetimba, ela byebakowoola buli lukedde. Ela oli n’akutuma omuletere Abaganda abetekuusa kuzino enjuyi z’abasajja betumenye, ebyaddala oba ogenda kukomayo — okomewo nga olina zeelo.

History of Buganda Kingdom

Kale n’olwekyo, okusobola okulanda obulungi nga tusiinzilidde ku bantu bano kiba kigenda kutuyamba okwanjuluza obulungi ensonga ez’enjawulo mukawefube waffe ono ow’okutunuulila enkyuukakyuuka mu byafaayo bya Buganda.

At’ela nawe nga bwokilaba, enjuyi zino zezeefuze enzimba, endaba, nentegeela eyabulyomu; kyenkana. Kwegamba bwobuuza omuntu yenna ebibuuzo ebinoonya okutegeela engeli ensi gyetambulamu, oli bwaaba wakukwaanukula, aba agenda kutambulira kundowooza ez’abasajja bano zebaaleta.

Kwegamba, mubufunze, okwo kwetusinzilira okulowooza ela okwo ebilowoozo byaffe kwebyetololera – to think with and to think around them.

Katuddeko Emabega Katiito Mukusinziira

Naye nga tetunatandika kubawanula, munywe ku munywe, nze abadde ateesa nti tusooke tujje mudiiro abantu abalala ab’abayambako. Kale leka tubayite abantu abalala abalina etafaali, oba omuteeko gwebassa ku Buganda, naddala munsonga ez’ebyefaayo. Tetuja kwogela kubangi.

Tugenda kukonako katono nnyo kubantu bano: John Speke, James Grant, ne Morton Stanley— mpozi ne Richard Francis Burton.

Oli ayinza okubuuza, nti “Kulwaki”?

Kwegamba, njagala tukozese abantu bano ab’abayambako nga eky’okulabilako ekilaga nti abasajja abakyuusa ebyafaayo bya Buganda baali si basajja mpale enyweera miguwa — bano abayubuka enkuta. Abasajja abo balina obukugu obutogelwaako nnyo; ekyo nekiletawo engeli yekifu mukutegeela ebyo byebatusaako engalo. Kale n’olwekyo, leka bano batuyambeko okumulungula ekifu abantu abamu kyebalina. At’ela, batuwe omusinji ogwokutegeela obulungi bali banno betugenda okumegula ku kiwagu, munywe ku munywe. Kale, leka tusooke tubajje mudiiro.

John Hanning Speke. (4 May 1827 — 15 September 1864)

Twakilengede dda nti mu 1862 John Hanning Speke yajja neyesogga o Buganda

Omungereza ono, gwebazaala mu 1827, yali munamajje awedde emilimu, ku daala lya Captain. Ela nga mukugu mukutindigga engendo empaavu olw’ekigendelelwa ekyokuzuula ebipya. Ela yali musajja nga mukessi ow’ekyaama — nga okwo kwogatta okubeela omupunta omutendeke obulungi agwa mutuluba lili elyenjawulo — kiyite astronomical surveying.

Hanning Speke ela yali munascience ela nga amanyi bulungi okukungaanya n’okuteleka mungeli eyekikugu sampolo ez’ebyafaayo eby’obutonde – natural history specimen.

Obukugu obulala bweyalina buli nti yali munamajje omukugu mukubala entalo, ela nga bebamu abaali abasajja ebikonge mukibiina kya majje kyebaali bayita British Indian Army, kyeyali yegattako mu 1884.

Omwo mukibiina ekyo mwatandikila okwaaniriza ekilowooozo eky’okujja eno ewaffe ku Ssemazinga wa Afrika ayigge ensulo y’omugga oguyitibwa River Nile. Ye magulu meelu eyasokela ddala okulinnya ekigere wano ewaffe ku nyanja Nalubaale.

Ela ndowooza bajjajja’fe abasooka okumulaba kate badduke nga bebuuza ‘kiki kino ekituzinzeeko’. Naye bwatuka n’ababuuza elinnya lyennyanja gyeyali atuseeko, nebamugamba nti ‘tugyeyitila Nnalubale’. Mukubaanukula n’abagamba nti balekele awo okwemoola. Ekintu ekyamaanyi ennyo bwekityo kilina kuyitibwa linnya lya nabakyaala wa Bungereza — afuga ewaabwe – Queen Victoria. Mbu ennyanja eyo yasooka kugyituuma Victoria Nyanza.

BAGANDA

 

 

Speke Yali Munamajje Awedde Emilimo

Abazungu bammujukila nnyo mu kikwekweeto kyebaatuma Punjab Campaign. Luno lwaali lutaro olwamaanyi mubyafaayo oluyitibwa First Anglo Sikh War. Omanyi, Abazungu webaali bagala okuwamba ensi ya India, abayindi abamu balaga emputu, naddala ba Punjab.

Kimanye nti abazungu bagenda okugendayo b’abasanga Abayindi balina Katonda waabwe, ela nga balina ne Yesu Kristu waabwe — ng’ela tebagala kumanya story ndala yona. Omununuzi wabwe ayitibwa Sikh Guru Ram Das.

Beebo abayindi bolaba besibye ekitambaala ekinene ku mutwe — aba Sikh. Abo abasajja bagezi nnyo ela bantu banabizinensi.

Buganda Kingdom

Munange, Abazungu nebagamba ‘musaaga’. Awo nebawendula ba Speke, nebalwaana ela nebawangula. Mwani Hanning Speke yalaga obukugu n’obusobozi obwenjawulo mu lutaro luno, ela daaki yamala n’akuzibwa mu 1850; n’afuuka Lutenant. Wayitawo emyaka ebili gyoka emilala, mu 1852, ela nebongela nebamukuza, n’afuuka Captain.

Okusinziila kubusobozi bweyayolesa n’ebitiibwa byeyali atuseeko, b’atandika okumutuma kumilimu egy’obuvunanyizibwa, eno neeli. Bwatyo nebamutuma agende akette ela yekebejje olusozi gaggadde oluyitibwa Himalayan Mountains. Zino ensozisozi zilina embeela ey’obudde enkambwe ennyo ela ogendayo nga wesibye ssatu. Ensozisozi zino zigabanwa ensi taano nambilila: India, Nepal, China, Pakistan, ne Bhutan.

Ela Speke y’omu oyo nebamusindika yekebejje ebili ku Mountain Everest. Yayitila eli kuluuyi lwa Tibet. Batugamba nti awo ku Everest kyekifo ekisingayo okuba ekyawaggulu ennyo mubuwanvu munsi yonna.

Ebituli mu Matama – at Ogaden

Bwaava eyo n’asalawo alumbe eno ewaffe, mu Afrika, omulundi gwe ogusookela ddala. Yatukila eli mu Aden, mu Yemen, nga ayagala kuyita eyo ayingile mu Somalia. Naye nebamulabula nti eli tebemoolelayo. Wapi! n’apalapalanya, n’ayingilawo. Ekyomukisa omulungi yasangayo Richard Francis Burton nga amulinze. Bwebatyo nebakwatagana, nebesogga Somalia. Baali bagala kutuuka mukifo ekyebyafaayo, Ogaden.

Naye baba bali mulugendo, nga bawujjadeko ekiro, aba Somalia nebabalumba, nebabafumitafumita, abaafa nebaafa, naye Speke ne munne, Burton, nebasobola okutoloka, n’ebisago byaabwe, nebabukila akaato, nebagenda nga batonnya musaayi.

Kilabika star wa film y’obulamu tafa. Bakugamba nti Speke yalina ebisago ebiyisa ekumi n’ekimu ku mubili’gwe. Ne Burton naye nga ali bwatyo. Burton ye yatoloka alina ebituli mumatama gombi.

Gwaali gutya?

Anti abasajja b’amufumita efumu nelimuyita mumatama neliggukila eli wabweeru. Bagamba nti ab’abalumba baali beyita “Waranle” nga basibuka mu kika ekimu kyebayita Isaaq.

Naye Abazungu bano olwasomoka, baggukila eli mu Aden. Webatuuka eyo nebasaba olukusa bakilizibwe beeyongele okutindigga engendo zaabwe. Olukusa olwo nebalubama, olwensonga nti baali bakoseffu nnyo ela nga balwadde. Awo kwekusalawo badde ewaabwe —  ela nebatandika kubala lugendo olw’okudda mu Bungereza.

Kigambibwa nti Speke yalina gyeyali ayagala okusookela. Naye mukwetegeka awo, n’addila ebintu’bye ebimu n’abikwasa Burton. Mbu ela mwebyo ebintu mwemwaali diary ye — akatabo mweyawandiikanga ebyo byeyali azudde nebyeyali alowooza.

Olutaro Wakati wa Bazungu n’aba Russia

Naye oluvannyuma; nga April 1855, Speke yaddayo e Bungereza, okumujjanjaba n’okuddamu okwetegeka obulungi. Ela bweyatuuka najjanjabwa. Olwali okkusuuka bwati, neyegatta ku banne abaali mu lutaro lwebaatuuma “Crimean War (1853-1856). Ku zimu kunsonga enkulu ez’akuma akabiliiti mu lutaro luno zaali nsonga zabyadiini — wakati wa Bakatoriki abali mu Turkey oba Ottoman Empire, n’aba Orthodox, Abakristaayo be Russia.

Russia yali eyagala kulemesa ba Katuliki okugenda mu Jerusalem ng’ela eyagala yeba efugayo. Bungereza egenda okukyetegereza nga ebyenfuna byaayo bigenda kukosebwa kasita Russia ewangula olutalo olwo. Amakubo Bungereza mweyali eyisa ebyamaguzi okuva n’okuyingira mu ssemazinga wa Asia gaali gajja kufuna obuzibu Russia eba kuwangula. Kko Bungereza; ‘leka oti!’

Awo Bungereza nekungaanya obuyambi n’obuwagizi, nabo nebetaba mulwokaano. Munammwe Omwami Hanning Speke gyegyaali emitwe emikulu mukuwangula.

Olengedde?

Ndowooza gyenjagala olengele olabyeyo. Bano abasajja baalina obukugu n’obumanyilivu obwawagulu ennyo ela nga olina okusaasila bajjajja’baffe abasooka okubengaanga. Bajjajja’ffe baali tebatambudde nnyo kilyawo. Gwebaazaalila Ekyanamukaaka, ela nga awo watambuliza obulamu’bwe. Naye bano abasajja baali balabye byebalabye, nga batobye, nga batendeke, ng’ela balengela. Nga obukodyo bwentalo nga bakungaanyiiza obuwera, ate nga bafuba okunonyereza, ela nga bawandiisi.

Okwo kwogatta okuba nga b’alina eby’okulwanyisa ebilina technologia owaamanyiko — ela neby’okulwanyisa ebitaboggola -— nga ediini nebitabo byaabyo.

Leave a Reply