Tukiliziganye ffena wamu baganda bange tugambe nti okuviila ddala mumwaaka ogwo, 1877, okumalilako ddala omulembe gwa Ssekabaka Mwanga II, obutabanguko mu Buganda bwaali super charger kabelenge – buli bwebayita vvawo mpitewo.
Okuva awo mu Myanga, okugendela ddala mumaaso, enkulembela mu Buganda nga ndala nnyo — nekifuuka ekibalo kyenyini; munjogela ennyangu etakubobbye mutwe – kichwa.
Ebiseela ebyo ebyenkyuukakyuuka sinziggu biyigiliza nnyo at’ela nga biwooma okufa; ng’ela bwolaba etooke kukatunkuma ataliimu munnyo, ate nga simufumbeko.
Ebiseela ebyo bilimu emboozi nnyingi nnyo okuva mubunyomelo obwenjawulo ela nga kyonna kyetunafuna, tugya kukileeta wano — tuwaye, tunyumye, tunanke eninki.
Naye naawe olina kyomanyi, oba nga olina gwomanyi alina kyamanyi — n’olwekyo bwoba otuusiza akasela, nga olina kyoteesa, togaana kutukonako emboozi eyo gyolina tujisembeze wano — ffena tuyige ela tunyumilwe wamu.
Waliwo abantu oba abalwaanyi ba Buganda abenjawulo abaaweleza nga ggwe bakunyumila; batunyumizeko. Waliwo obusambatuko, entetenkanya eyenjawulo, okumanya oba ebigambo ebikyaamu byosobola okuteleeza. Waliwo ebitafibwaako naye nga ggwe osubila kyandibadde kilungi bifibweko – ebyo byona bikola amakulu wano. Tugya kubiwa akadde n’akagaanya; nga at’eno bwetugenda mumaaso okugobelela emboozi eyenkyuukakyuuka ezaletebwa mu Buganda. Ogwo gwemulamwa.
Naye okudda kunsonga eyanjuddwa muddiiro, okusobola okutegeela obulungi ebiseela ebyo ebyenkyuukakyuuka sinziggu mu Buganda, kiba kitwetagisa okulingizaa’ko kubitonotono ebyaaliwo nga omwaaka 1887 tegunakonkona. Oluvannyuma, awo tusinziile bulungi mukunyumya kwaffe kuno.
Tukilengedde nti babussuka nsalo abasokela ddala okujja mu Buganda baali basajja Bawarabu (Arab caravan traders). Oluuyi luli olwabamagulu meelu, tulengela Omw. John Hanning Speke nga naye yessoga Obuganda mu 1862. Aba yakamalawo ssabiiti sinnyinji nnyo, munne Grant naye n’ayingilawo.
Omanyi, Hanning Speke bweyatuuka mu Lubiri n’ategeeza Ssekabaka Muteesa I nti “munange gwenzize naye bamuyita Grant, naye mulese eli wansi, e Kalagwe, olwensonga nti alina obuvune kukugulu’kwe okwa ddyo. Ela tasobola kutambula”.
Kabaka teyalonzalonza. Kyeyazaako kwekuyita abavubuka amakumi ana, n’abatelako omukulembeze anabakulembela. Ela n’abalagira bagende bakime Mw. James Augustus Grant.
Kati nno tolowooza nti baalinya’wo bodaboda. Nedda ssebo. Omugilimaani, Omw. Gottlieb Daimler eyayiiya technoligia bodaboda zino zebagoba mu kibuga kwezitambulila, mu 1885, yali akyeteleeza, nga tayagala bintu byakumupapya — bbila mupango.
N’olweekyo bakigyaana abatusooka baalina okukagawo obukage. Bwebamutukako eli emmanga mu Tanganyika nebakola engeli yakatanda, okwo kwebamwebasa; nebamwetikka kumutwe — nga webajja bawanyisiganya. Grant yannyumya n’agamba nti abasajja ba Waganda baali batambulila ku speed yawaggulu; nga miles mukaaga bazitambula mu saawa emu yoka. Grant bamukima nga omwezi ogwokusatu gugwaako. Ela nga 14th April, 1862, buteleevu, nga mutaka mu Lubiri.
Kati awo wakati waliwo omugenyi eyajja mu Buganda nga ayagala kwongeleza kumulimu Dr. David Livingstone gweyali yatandikako. Omwami ono ye Henry Morton Stanley. Omanyi, omusajja ono eyali munamawulire, yali asindikiddwa okuyigga Dr. Livingstone eyali abuze, nga bwekyaali kitebelezebwa mu Bungereza. Kati bwamusanga mu 1871, awo emmanga mu Ujiji, mubaganda’baffe aba Tanganyika, yamusanga ali mumbeela mbi. Oluvanyuma, mumwaaka ogwaddako, 1872, n’asimbula okwongela okutalaaga Ssemazinga wa Africa, bwatyo n’agukila mu Buganda mu 1875. Webamwaniliriza e Rubaga, neyetegeleza entegeka eyaliwo’awo. Ela naasima. Akugamba nti yasanga ekibuga ekitegeke obulungi nga waggulu kuntiko y’olusozi nga yeeli omuduumiizi sabadumizi, ow’okuntiko — Kabaka — ng’ela eyo gyatuula, wakati wenyini, nga yetoloddwa abantu beyatebeleza okuba nga bassuka emitwawalo ena. Ela n’agelagelanya obusobozi oba amaanyi gabajaasi ba Buganda abaaliwo’awo. Mukuketta’kwe, ebyo byebimu byeyawandiikanga n’abiweleeza ewaabwe.
Oluvannyuma bweyaweebwa okulaba Kabaka, n’ayagala amufuule omuKristaayo. Ebyo nga Kabaka sibyaliko. Naye n’amanya nti ensonga ez’okukulakulana ezo nga Kabaka azaagala nnyo. Mpozi ate kyotalina kubuusa maaso kili’nti; yasanga Kabaka nga mwelalikilivu kubanga Abamisili baali bafuuse ensonga. Baali bagya bawamba amawanga okuva mumambuka ga Buganda.
Mu taka lya Achooli, baali bamaliriza okuwamba ngela babafudde abaddu. Mu Bunyoro baali bakyaali wakati mulutalo; nga aba Misiri bafuuse enjuki. Nga mu Buganda, wakati mu lubiri, mwaali muzeemu omukungu omu okuva mubamisiri, ela nga kitebelezebwa nti abakessi abekyaama, okuva mu Misiri, baali basensedde o Buganda.
Kati nga mazima Kabaka mwetegefu okuwuliriza ebilowoozo ebiyinza okumuyambako okugonjoola ensonga eyo. Kko Morton Stanley namugamba nti ffe tuyite mubutongole. Tujja kubasomesa, tubayigilize ebyemikono ela tubawe emmundu, ate okwo twongelezeeko okubayigiliza nengeli gyebakolamu obuganga bwaazo.
“Ebbaluwa“
Munange, awo nebakoza mubwiino, olupapula neluvaayo, bwatyo Kabaka n’ayita ‘abasomesa’ bajje mu Buganda. Yeeyo ebbaluwa gyowulila eyayita abasomesa — abaminsani — ba Makaayi ne banne kwebasinzilira okujja, wansi wekitongole ekya CMS.
Bakugamba nti ono Henry Morton Stanley yali musajja muzibu nnyo. Abasinga okumwaasimula bebanaffe aba Congo. Yabafukila kyebawalula.
Ekintu kyolina okumanya kili nti abasajja bano bamagulu meelu bebasindikanga mu Africa baali basajja mekete nnyo ebyaddala. Okusookela ddala baali balina obumanyilivu n’obutendeke munsonga ezentalo. Obukugu bwaabwe obulala bwona nga okwo kwebusinzilila. Tujja kweewa akadde tulingizeko’ko mubulamu bwaabwe mungeli enatuwa okuggumila mumboozi zaffe zino naye nga ekyo njagadde kimanyibwe. Omanyi oluusi tukibuusa amaaso. Ate abasajja abo tebaabanga bokka. Baabanga n’ababawelekedde, ela nga nabo basajja bikonge.
Mu June,1877, twalengedde dda nga banaffe aba Church Missionary Society (CMS) nga besogga o Buganda. Naye newankubadde baali kilindi, ffe amaaso tugenda kusinga gatunuuliza Omw. Alexander Murdoch Mackay – gwetwatuuma Makaayi.
Mukibiina kyetwalengedde, ekyaba’Falansa, ekya Roman Catholic White Fathers, ekyajja nga 22nd February, 1879, eyo yo tugenda kusinga kutunuulila Omw. Father Pere Simeon Lourdel (1853-189. Mulufalansa gwebayita Mon Pere – naye ffe obutagala nsonga z’akweluma lulimi, netumutuuma ‘Mapeera’ – ekyo nakyo nekiva mudiiro.
Awo okuviila ddala mwebyo ebiseela ekintu nekisajjuka, nga bamagulu meelu, okuva yonna gyebagadde okuva, nga bayingila webafuluma mu Buganda – kyeele – nga teli abakuba kumukono. Ebintu byaali bikyuuse.