Mubulamu teli nkyuukakyuuka nnyangu ela kyova olaba nga buli nkyuukakyuuka yonna ey’omuggundu eggya n’obutabanguko buli bwebayita mamayaake. Obutabanguko buno si kyekiba ekilubililwa ekikulu naye olwensonga nti ekipya kiba kizze mulwaatu okutwaala ekifo kyeekyo ekiliwo, oba ekikadde, enkubagaano, yagala gaana, ziba zilina okumelukawo.
Mubyafaayo ebyobwakabaka bwe Buganda muzze mubelamu enkyuukakyuuka ezenjawulo naye waliwo ekiseela ekyajja nga kilumye n’ogwengulu — nga kisinzidde. Mwekyo ekiseela ebyafaayo bya Buganda byajja nebikyuuka nnyo mungeli ebigambo gyebitasobola nakugezaako kunnyonnyola bulungi.
Enkyuukakyuuka ezo zaagenda nezisimba emilandila gili gi teleela nkwongele ela nga okugisiguukulula, bakutuma e China kubigele n’okomawo n’ogisanga nga gyikyaliwo, ela nga gyezinila gudiikudde.
Kyolina okusookela ddala okumanya kili nti ebyo ebiseela binyuma okukamala, biyigiliza byansuso, byaawa o’Buganda ebilungi bingi, at’ela mubuufu bwebumu obwo, nebijja bigizalila eminyila – newabaawo okufeesa okutaalina katambaala.
Nze muli nkakasa nti omuntu yenna bweyekeneenya ennyo ela neyettanila ebiseela bino byetugenda okuba nga tuwayaamu’ko, nze naawe babwooya, mazima aba asobola okuyigilamu kyona kyeyetaaga okuyiga mukusobola okutegeela engeli ensi eno gyetambulamu.
Ekintu oluusi ekitulemesa okubaako byetuyiga bwebunafu obwokwekubiila ennyo munsonga zino ezikwatagana kubyafaayo. Naye nze mbadde nteesa nti obunafu obwo tufube okubuteeka mukitangaala. Ekyo kijja kusobola okutuwa akagaanya okubulengelelawo nga butwesembeleza okutulemesa.
Newankubadde ebiseela ebyaasinga okukyusizza ddala o Buganda byetuumye mwaako akadde abazungu n’abawarabu webasinga okutumbula ensonga ebbili: ez’obusubuuzi n’ediini; obuganda bwaali bbwo bwalumbibwa dda.
Mubufunze, ebiseela ebyo ebyenkyuukakyuuka sinziggu, katusinge kusonga mukiseela ekyo abazungu webatandikiliza okuyingila mu Buganda. Awo wetugenda okulandila mpola mpola.
Mukulingizaayo, tulengela omwezi ogwomukaaga, 1877, banaffe aba Church Missionary Society (CMS), okuva e Bungereza, nga bayingila o Buganda. Baali bakulembeddwamu Omw. Shergold Smith nga ali ne Rev. CT Wilson.
Mu November, 1878, munaabwe omulala, Omw. Alexander Murdoch Mackay, naye nayingilawo mukibuga, e Rubaga, nga ava eli e Zanzibar gyeyali akyaali. Mw. Mackay twamukazaako elya ‘Makaayi’ okwanguya ensonga. Ela omwaami ono mpagi nkulu nnyo mubyafaayo bino kubanga yafuukila ddala omwaana owawaka.
Makaayi aba yakateleeza wanasula bwati, newabaawo ekibiina ekilala ekyabakristaayo nakyo nekiyingilawo mu Buganda — nga bbo beyita ba Roman Catholic White Fathers abaali basindikiddwa okuva mumambuka ga ssemazinga wa Africa gyebaali baasimba amakanda gaabwe — eli waggulu mukibuga Algiers ekya Algeria. Baali batambulira wansi wekibiina kyebaali bayita Notre Dame D’Afrique Society.
Banno nno bbo nga ba Falansa; nga Baseseledooti — Abakatoliki bennyini abataliiko yadde kabuuza. Makaayi yanyumya n’agamba nti nga 22nd February, 1879, abantu bano besogga o Buganda. Naye teyakisanyukila nnyo kubanga, nga bweyagamba, nti buli aba CMS webaagenda’nga nga n’abaseseredooti nabo nga basonga.
Naye, abaasokela ddala okujja baali babili boka; Faaza Laudel Mapeera, ng’ali nemunywaanyi’we; Brother Amans. Wayitawo emyezi ena gyoka, mu June, banaabwe abalala basatu nabo nebabegatako; Farther Barbot, Girault, ne Livinhac.
Nga naawe bwokilengedde, mubanga elyemyaaka ebili gyoka tulengela nga mu Buganda muzeemu ebitongole bibili ebyenjawulo — nga byona bisinzidde okusimbamu amakanda gaabyo. Kyoka ate nga byona bigamba nti bbyo bizze kusomesa kintu kimu ekyo—bukristaayo.
Wetwogelela bino byonna, Abawarabu n’obusilaamu byaali byaasimba dda amakanda gaabyo ela nga ggo gaggumila dda. Okumanya ebyekiwalabu byaali byaggumila dda, nga abaganda munda wakati mu Lubiri nga bogela n’okuwandiika mu Luwarabu.
Jjukila nti Ssekabaka Ssuna II bweyali nga alamula Namulondo Abawarabu baali batandikidde ddala okujja mu Buganda.
Ela mu mwaaka ogwo 1867, Obusilaamu nga bweliisa nkuuli wakati mu Buganda ng’ela tewaliiwo muntu yadde n’omu bwaati eyali awondela.
Naye, Omwaami. Ahmed Bin Ibrahim empapula ezimu oyo gwezisinga okukonako nga Omuwarabu eyasokela ddala okuyingila mu Buganda, mu mwaaka 1843(45).
Naye at’ela waliwo abogela ku mwaami ayitibwa Seim eyajja mu Buganda mu 1848 nti naye oyo ye teyagenda mu Lubiri kulabwa.
Waliwo omwaami omulala eyali ayitibwa Issa Bin Hussein. Ono nno yali asulila ddala mu Lubiri kubanga yakumaako Ssekabaka Ssuna II, nga yamuba kulusegele.
Ate empapula ezimu nezisimila ddala ela nezikulaga nti okuviila ddala ku Mikookilo Abawarabu baali b’atandikiliza okulabwa mu Buganda.
Sso, newankubadde Abawarabu baali bagya dda mu Buganda, ekintu ekyokwefunzizza ddala obuganda, naddala munsonga ez’ebyobufuzi, baali tebanaba kukiwunzikila ddala, ng’ela tewaliwo nnyo nsoga ebapapya. Ekintu baali bakisensela mpola mpola.
Naye abazungu webaatandika okujja, ate nga balaga nti basinzidde ela nga bazze gawanye, awo n’abawarabu nebatandika okwagala okunyweeza ekifo’kyaabwe ekyaali kifunye avuganya; ate nga mazima abazze okuvuganya nabo balina embavu.
Oh, mwana weeka awo nange nenkulabila enkuubagano nga zitandise okwewagala — wakati wabawarabu, abaseseredooti, abaprotesitanti, nenzikiliza ez’awaka munju, zikaasangwaawo.
Obuganda bugenda okukyetegeleza obulungi nga butudde wakati munkulungo eyenkyuukakyuuka eyali emansukako ogutafumba — ngamba omuliro. Kyoka at’eno nga aba Misiri nga baagala kuwamba Buganda. Wali emmabbali nga Abanyoro nga likyaali ligwa lyenyini eligyiigyiila. Ate nga eno wakati mulujjuliro, nga abaana babuganda, ab’omunju, nga nabo batandise okwawukanila ddala ebintu ebyekikulu, n’okuttingana, nga basinzidde ku misinji egyamadiini agaali gasensedde. Hoo, wama nenkulabila ekivuguto.
Ekuba omunaku yamputu, anti tekya; laba Ssekabaka Muteesa I bwajja ajja omukono mungabo. Awatali kuwataanya kulala kwona, Ssekabaka Mwanga II n’abaka engabo eyo. Akwaata engabo eyo nga amanyi bulungi ebitiibwa bya jjajja’we Suuna II nekyakitaawe, Muteesa I, nga bwebizze biba. Ela mubutuufu bwakyo nga naye ayagala nekikye kibeele bwekityo. Mhh….
Wazira agenda okutuula kuntebe yabajjajja’be, entebe eyo elamula o Buganda, nga bijebye. Kko Ssekabaka Mwanga II, ebililira netasiliila — kazaabike.
Kiliza gaana bwetwazilunda, amazima gali nti entebe eyo yali yabuguma dda. Nga okujitulako ng’oba olina kuba nga wesibye ssatu, ebbili nga tezimala. Ebyo ebiseela byaali bizibu nnyo.
Hooo!!!
[Kale muganda wange, tunayongeleza okwo ….]